Osobola featuring Nubian Li by H.E Bobi Wine

bobi wine osobola

Intro
All man Remember that everything you believe
You can achieve man
Watch this! Eh


Verse 1
Mbalabye bangi mu bulamu abatoba
Abamu ne baggwamu amaanyi ne bakita
Naye leero kambagambe amazima
Bw’olemerako munnange omalako
Kati twasalawo ffe kulumba nalo
Nga twesiga Mukama Katonda
Kubanga ne Dawudi yanyiga
Goliyaasi Nga yesize Mukama Katonda

Chorus
Wadde ng’embeera ekaaye Osobola
Nkusaba toggwamu ssuubi Osobola
Manya Mukama waali Osobolla
Osobolla embeera yonna
Eeh wadde ng’entiisa nnyingi Osobolla
Nga Mukama waali Osobola
Kale no toggwamu maanyi Osobolla
Osobolla mu mbeera yonna

Verse 2
Ggulawo amaaso otunule
Kuba bw’ozibiriza ensi yo egenda
Nsonga za ggwanga mujje
Okumanya kwo kwe kuyamba abalala
Ebikunyiga by’ebinnyiga
Tubikwase maanyi ebyo
Twebereremu tetupowa
Tukyuse embeera eno
Naye nga osobolla okukyusa embeera
Wadde nga olowooza otuuse ku kisenge
Osobola okulaba kw’ebyo bye waloota
N’obituukako in your lifetime
Kasita okola n’amaanyi n’olemerako
Ebirala obikwase
Katonda Jjukira abalemerako, be bamalako
Enjogera eyo yaffe kuva dda

Chorus
Wadde ng’embeera ekaaye Osobolla
Nkusaba toggwamu ssuubi Osobolla
Manya Mukama waali Osobolla
Osobolla embeera yonna
Eeh wadde ng’entiisa nnyingi Osobola
Nga Mukama waali Osobolla
Kale no toggwamu maanyi Osobolla
Osobolla mu mbeera yonna

Verse 3
Kati ggwe abadde alowooza
Nti ebintu bya balonde
Leka nkubuuse ate
Naawe abadde amanyi nti
Ebintu tebisoboka Example ye ffe
Kati no tebakutiisa Tebakufiisa
Tebakunyoomanga Naawe ebintu obiyinza
Abali mu buyinza, tebakukanganga
Wadde nga bajja na bitala
Bajja na lyanyi Ffe tuzze na Mukama Katonda
Kuba ne Dawudi eyakuba Goliyaasi
Yakwata bukwasi jjinja
Ffe twava mu Ghetto kulumba nalo
Nga twesize Mukama Katonda
Kubanga ne Dawudi yanyiga Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda

Chorus
Wadde ng’embeera ekaaye
Osobolah Nkusaba toggwamu ssuubi
Osobolah Manya Mukama waali Osobolah
Osobolah embeera yonna
Eeh wadde ng’entiisa nnyingi Osobolah
Nga Mukama waali Osobolah
Kale no toggwamu maanyi Osobola
Osobolah mu mbeera yonna
Remember, everything is possible
If only you believe You can achieve
Hahaha Abo tebakulimba (Osobolah)
Abawoza tolumba (Osobolah)
Katonda talimba (Osobolah)
Manya ye Defender (Osobolah)
Abo tebakulimba (Osobolah)
Manya ba pretender (Osobolah)
Katonda talimba (Osobolah)
Manya ye Defender (Osobolah)
Abo tebakulimba (Osobolah)
Abawoza tolumba (Osobolah)
Katonda talimba (Osobolah)
Manya ye Defender (Osobola)
(Osobolah) (Osobolah)
Ne Dawudi yanyiga Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda (Osobolah) (Osobolah)

Lyrics By Kaju Matic
Powered by Hecioz

Be the first to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published.


*